2 Chronicles 5:13-14

13 aAwo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti,

“Mulungi,
kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.”
Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire.
14 bBakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogw’obuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.

Copyright information for LugEEEE